Hebrews 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
byonna n'obissa wansi w'ebigere bye.” Byonna bwe yabissa wansi we, tewali kye yalekayo ky'atassa mu buyinza bwe. Weewaawo kati tetulaba nga byonna biri mu buyinza bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.” Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye.” Bwe yateeka ebintu byonna wansi we, tewali kintu kyonna kyatamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byonna wabiteeka mu buyinza bwe.” Bwe yassa ebintu byonna mu buyinza bwe, talina kintu na kimu ky'ataamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba nga byonna abifuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.