Hebrews 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tulaba Yezu, oyo eyamala akabanga ng'atoowaziddwa n'akirwa bamalayika, kati atikkiddwa engule ey'ekitiibwa n'ettendo ebyamuviira mu kubonaabona ne mu kufa; ye olw'eneema ya Katonda yateekwa okulega ku lumbe ku lwa buli muntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tulaba Yesu, eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw'ekisa kya Katonda yabonaabona n'afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n'alyoka atikirwa engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula gwe tulaba ye Yesu. Olw'ekisa kya Katonda, yakolebwa n'abulako katono okwenkana bamalayika, alyoke afiirire abantu bonna. Tumulaba ng'atikkiddwa engule eyeekitiibwa n'ettendo, olw'okufa kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'assibwako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, olw'ekisa kya Katonda alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu.