Hebrews 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyennava nsunguwalira ezzadde eryo, ne ŋŋamba nti: ‘Bulijjo bawaba mu mitima gyabwe; tebamanyi makubo gange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe, era tebamanyi makubo gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti, ‘Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe, tebaategeera makubo gange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava nsunguwalira abantu abo, ne ŋŋamba nti: ‘Bulijjo baba bakyamu mu kulowooza kwabwe, tebamanyanga mateeka gange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe: Naye abo tebaategeera makubo gange;