Hebrews 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula munywezagane buli lukya, ebbanga lyonna ng'olunaku lukyali 'olwa leero', mu mmwe wabulewo aguguba olw'okusendebwasendebwa ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, nga bwe mukyalina ekiseera ekiyitibwa, “leero,” waleme okubaawo omuntu yenna ku mmwe okukakanyazibwa obulimba bw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kifo ky'okuva ku Katonda, mubuuliriragane buli lunaku, nga “Olwaleero” lukyaliwo, waleme kubaawo n'omu ku mmwe obulimba bw'ekibi gwe bukakanyaza omutima,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n'obulimba bw'ekibi: