Hebrews 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffenna tugabana ku Kristu, kasita obwesige bwe twalina mu masooka tubunywererako okutuusa ku nkomerero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunaaba tussa kimu mu Kristo, bwe tunanywereza ddala okusuubira kwaffe okutuusa ku nkomerero kwe twatandika nakwo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, kasita tunywereza ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, ne tubutuusa ku nkomerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tunaakwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero: