Hebrews 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bagamba nti: “Olwa leero singa muwulira eddoboozi lye, muleke kugugubya mitima gyammwe, nga ku luli olw'okujeema,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bwe kikyayogerwa nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kiseera kye bajeemeeramu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Olwaleero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe, nga bajjajjammwe bwe beewaggula ku Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe kikyayogerwa nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa.