Hebrews 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaamusunguwaza okumala emyaka amakumi ana baki? Si be bo abaakola ekibi emirambo gyabwe ne gisigala nga gigudde mu ddungu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baani be yanyiigira okumala emyaka ana (40)? Si beebo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era be baani Katonda be yasunguwalira okumala emyaka amakumi ana? Be bo abaayonoona, ne bafa, era emirambo gyabwe ne gisigala mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?