Hebrews 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali mwesigwa eri oyo eyamuteekawo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali mwesigwa eri Katonda eyamulonda okukola omulimu ogwo, nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna.