Hebrews 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, kyokka ng'omuweereza, akakase ebyali bigenda okwogerwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda, ng'omuweereza, okutegeeza ebintu ebyali bigenda okwogerwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Musa yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. Yali muweereza eyakakasa ebyo Katonda bye yali agenda okwogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa;