Hebrews 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Kristu yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda ng'omwana. Ffe nnyumba ye kasita tusigala bulijjo nga tunyweredde mu bwesige n'okwenyumiriza essuubi lyaffe bye lituwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye Kristo yali mwesigwa mu nnyumba ya Katonda ng'omwana. naffe tuli nnyumba ye bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Kristo mwesigwa ng'Omwana akulira ennyumba ya Katonda. Ffe nnyumba ya Katonda, kasita tusigala bulijjo nga tuli banywevu, nga tulina essuubi eryo lye tweyagaliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero.