Hebrews 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso ge mpaawo kitonde na kimu kikisiddwa, byonna byanike, biri mu kyangaala mu maaso g'oyo gye tugenda okuwoleza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewali kitonde ekitalabika mu maaso ge, naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali kitonde na kimu kiyinza kwekweka Katonda. Ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa Katonda, era oyo gwe tugenda okuwoleza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.