Hebrews 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tumaze okuba ne kabona omukulu atyo, eyasenserera eggulu, Yezu Omwana wa Katonda, tunyweze enzikiriza yaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okukkiriza kwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tunywereze ddala okukkiriza kwaffe kwe twatula, kubanga tulina Ssaabakabona omukulu bw'atyo, Yesu Omwana wa Katonda, eyayingirira ddala eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe.