Hebrews 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tetulina kabona atatukwatirwa kisa mu bunafu bwaffe, naye tulina oyo eyagezebwa mu byonna nga ffe, kyokka n'atakola kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tulina Kabona Asinga obukulu alumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, so nga ye talina kibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssaabakabona gwe tulina, alumirwa wamu naffe, mu bunafu bwaffe, kubanga mu byonna yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa, kyokka n'atakola kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.