Hebrews 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno tusembere eri nnamulondo y'eneema nga tuli bagumu, tusaasirwe, twefunire eneema ey'okutuyamba nga tubadde mu bwetaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa ekinatuyambanga mu kiseera nga twetaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tugume okusemberera entebe ya Katonda nnannyini kisa, alyoke atusaasire, era atukwatirwe ekisa buli lwe tuba twetaaga okuyambibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga.