Hebrews 4:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naffe amawulire amalungi gaatuyigirizibwa kyenkana nga bali; naye ekigambo kye baawulira mpaawo kye kyabagasa, kubanga mu baakiwulira tekyasangamu kukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga naffe twabuulirwa Enjiri, era nga bo, naye ekigambo kye baabuulirwa tekyabagasa bo, kubanga bwe baakiwulira tebakikkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naffe twawulira Amawulire Amalungi, nga nabo bwe baagawulira. Naye bye baawulira, tebyabagasa, kubanga bwe baabiwulira, tebaabikkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga naffe twabuulirwa enjiri, era nga bo: naye ekigambo eky'okuwulira tekyabagasa bo, kubanga tebaagattibwa mu kukkiriza wamu n'abo abaawulira.