Hebrews 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ffe abakkiriza tuyingira mu kiwummulo, nga bwe yagamba nti: “Kyennava ndayira mu busungu bwange nti: ‘Tebaliyingira n'akamu mu kiwummulo kyange.’ ” Sso emirimo gye gyonna gyaggwa luli ensi lwe yabangibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti, “Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ” Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ffe abamaze okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti, “Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange,” newakubadde ng'emirimu gye gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe abakkiriza, ffe tuyingira mu kiwummulo ekyo, nga Katonda bwe yagamba nti: “Nasunguwala ne ndayira nti: ‘Siribawa kiwummulo n'akatono.’ ” Kino yakyogera, newaakubadde ng'emirimu gye gyaggwa, bwe yamala okutonda ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ffe abaamala okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: newakubadde ng'emirimu gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi.