Hebrews 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda kwe kussaawo olunaku olulala nti: “Olwa leero,” ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyumako, mu bigambo ebyajuliziddwa edda nti: “Olwa leero, singa muwulira eddoboozi lye, muleke kugugubya mitima gyammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava nate ateekaawo olunaku oluyitibwa,“ leero,” nga bwe yayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi, mu bigambo bye tumaze okwogera waggulu, “Leero, bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kiri bwe kityo, kubanga Katonda yateekawo olunaku oluyitibwa “Leero.” Nga wayiseewo emyaka mingi, Katonda alwogerako ng'ayita mu Dawudi, nga bwe twagambye waggulu nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lya Katonda, temukakanyaza mitima gyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nate ayawula olunaku gundi, ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye, Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.