Hebrews 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kabona omukulu aggyibwa mu bantu n'assibwawo ku lw'abantu ku bidda eri Katonda, aweereze ebitone n'ebitambiro olw'ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli kabona asinga obukulu, alondebwa okuva mu bantu, ateekebwawo okuweereza ku lwa bantu eri Katonda, okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli ssaabakabona, alondebwa mu bantu n'ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe. Awaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda olw'ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi: