Hebrews 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati obudde we butuuse mazima mwandibadde bayigiriza, naye laba mukyetaagisa okuddamu okuyigirizibwa ekigambo kya Katonda okuviira ddala ku bisooka. Mwetaaga mata si mmere ŋŋumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kikyetaagisa okuddamu okubayigiriza ebisookerwako eby'ekigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere nkalubo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba newaakubadde nga kaakano mwandibadde muli bayigiriza, naye era mukyetaaga ow'okubayigiriza ebisookerwako mu kuyiga ekigambo kya Katonda. Era mukyasaanira mata, sso si mmere nkalubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw'ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby'olubereberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo.