Hebrews 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mazima, oli akyali ku mata taba mukugu mu kigambo kya butuukirivu, kubanga akyali muwere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu, aba akyali mwana muto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli akyasaanira amata, aba akyali mwana muto, atayawula kituufu na kikyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto.