Hebrews 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asobola okukwata n'ekisa abatalina kye bamanyi n'abawaba, anti nga naye yennyini mu buli wantu muyabayaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asobola okukwata empola abo abatamanyi n'abawaba, kubanga naye yennyini munafu mu bintu bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu;