Hebrews 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyava talema kutambira lwa bibi bye yennyini nga bw'akola olw'ebibi by'abantu abalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'obunafu obwo kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olw'obunafu obwo, ateekwa okuwaayo ebitambiro olw'ebibi bye, nga bw'awaayo olw'ebibi by'abantu abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw'ebibi.