Hebrews 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali yeewa kitiibwa ekyo, wabula ayitibwa Katonda nga bwe kyali ku Aroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali muntu yenna ayinza okwetwalira ekitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni bwe yayitibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali ayinza kwewa kitiibwa ekyo, okuggyako oyo Katonda gw'ayise, nga Arooni bwe yayitibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni.