Hebrews 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lye yamala ng'ali mu mubiri, yaweereza okwegayirira n'okuwanjaga mu kuleekaana n'amaanyi ne mu maziga eri oyo eyalina obuyinza okumuwonya olumbe; yawulirwa kubanga yatya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu mu kiseera kye yabeerera mu mubiri, yasaba ne yeegayiriranga ng'akaaba mu ddoboozi ery'omwanguka na maziga, oyo eyayinza okumulokola mu kufa, era yawulirwa olw'okutya kwe Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu mu bulamu bwe obw'oku nsi, mu ddoboozi ery'omwanguka ne mu maziga, yeegayirira era n'asaba Katonda eyalina obuyinza okumuwonya okufa. Era yawulirwa, kubanga yassangamu Katonda ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda,