Hebrews 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amaze okumalirizibwa mu bujjuvu, bonna abaamugondera yabafuukira nsulo ya kulokoka okw'emirembe gyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensibuko y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okutuukirira, n'afuuka ensulo y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamugondera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira;