Hebrews 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno tuve ku bino ebisookerwako bye twayiga ku Kristu, tulinnyuke ku by'ekikulu nga tetuzzeemu ate ku bye twasokerako eby'okwekomako ku bikolwa ebifu era n'okukkiriza Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo katuleke ebyo ebisookerwako okuyigiriza Kristo, tweyongere mu kukula mu kukkiriza, kuba twabatekerawo dda omusingi ogw'okwenenya ebikolwa ebifu n'okukkiriza Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ka tuleke ebyo ebisookerwako mu kunnyonnyola ku Kristo,tweyongere mu maaso okuyiga ebisingawo era eby'ekikulu mu kumukkiriza. Twabayigiriza dda ebigambo ebiri ng'omusingi, era tetwetaaga kubiddamu. Mumanyi bwe kitagasa okgezaakookulokolebwa nga tuyita mu bikolwa byaffe, era mumanyi obukulu obuli mu kukkiriza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda,