Hebrews 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda si gw'ogamba nti si mwenkanya, eyeerabira omulimu gwe mukoze, n'okwagala kwe mulaga mu linnya lye, nga muweereza abatuukirivu era nga bwe mukyabaweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Katonda mwenkanya, tayinza kwerabira mulimu gwe mwakola, n'okwagala kwe mwamulaga mu buyambi bwe mwawa, era bwe muwa abantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.