Hebrews 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twegomba nti buli omu mu mmwe alage obunyiikivu bwe bumu okutuusa ku nkomerero okulaba nga bye musuubira bituukirizibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era twagala nno buli omu mu mmwe okulaganga obunyiikivu obwo, okutuusa ku nkomerero, lwe mulifuna kye musuubira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero: