Hebrews 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ddala nzija kukuwa omukisa, nkuwe n'okwala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'ayogera nti, “Mazima ndikuwa omukisa, nnaakwazanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagamba nti: “Mazima ndikuwa omukisa, ne njaza ezzadde lyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga.