Hebrews 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bo balayira oyo abasingako obukulu; abantu bwe baba mu mpaka zaabwe, ekirayiro kye kikakasa eky'enkomerero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu balayira asinga obukulu, era mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro bwe bukakafu obusalawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu balayira oyo abasinga obukulu, era ekirayiro bwe bukakafu obusalawo empaka zaabwe zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa.