Hebrews 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Katonda bwe yayagala okukakasa abalisikira ebisuubizo nga ky'ateesa bwe kitakyuka, yayingizaawo ekirayiro;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Katonda bw'atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng'ayagala okukakasiza ddala abasika b'ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda kyeyava alayira, akakase bye yasuubiza. Yayagala okukakasiza ddala abo abalifuna ebyasuubizibwa, nti bye yasuubiza talibikyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka: