Hebrews 6:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe kityo mu bibiri ebitakyuka Katonda mw'atayinza kulimbira, ffe abanoonya obwewogomo tulyoke tugumizibwe n'amaanyi, tunyweze essuubi erituweereddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda yakikola bw'atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abaddukira gy'ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yakola ebintu bibiri ebitajjulukuka, era by'atayinza kulimbiramu: yasuubiza, era n'alayira. N'olwekyo ffe abadduka okunoonya obubudamo mu ye, tuddamu nnyo amaanyi, ne tunyweza essuubi lye tuluubirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe;