Hebrews 6:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu eyatukulemberamu gye yayingira ku lwaffe, ng'amaze okufuuka kabona omukulu emirembe gyonna mu lubu lwa Melekisedeki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu gye yatusooka okuyingira ku lwaffe, ng'afuuse Ssaabakabona mu lubu lwa Melikizeddeki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.