Hebrews 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga kizibu okukomyawo nate abo olumu abaamulisibwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bagabana ku Mwoyo Mutuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga abo abaamala okufuna ekitangaala kya Katonda, ate ne bakivaamu, tekiriyinzika kubakomyawo mu kwenenya. Baalega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,