Hebrews 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettaka erinywa enkuba eritonnyako bulijjo, ne lizza ebimera ebigasa abalirima, lifuna omukisa okuva ewa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala ebibala ebibasaanira abo ababirima, efuna mukisa okuva eri Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettaka erinywa enkuba eritonnyako emirundi emingi, ne likuza ebimera abalirima bye beetaaga, Katonda aliwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda: