Hebrews 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe lizza amaggwa n'amatovu, teririna kye ligasa, ligwanye kuvumirirwa. Enkomerero yaalyo kubeera kwokebwa muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bw'ebala amaggwa n'amatovu, tesiimibwa era eba kumpi n'okukolimirwa, ku nkomerero ebimezeeko byokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe likuza amaggwa n'omuddo, liba terikyagasa, era nga lirindiridde kuvumirirwa na kuzikirizibwa muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.