Hebrews 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaagalwa, lwa kwogera tutyo, naye ku mmwe tukakasa nga muli ba kufuna ebirungi ebisingawo eby'okulokoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye, abaagalwa, newakubadde twogedde bwe tutyo, mmwe tetubabuusabuusa, tumanyi nga mulina ebintu ebirungi ebiraga nga muli mu bulokozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abaagalwa, newaakubadde nga twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusaamu. Tumanyi nti muli bulungi, era muli mu kkubo eritutuusa mu kulokolebwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulokozi, newakubadde nga twogedde bwe tutyo: