Hebrews 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono Melekisedeki, kabaka w'e Saalemu, kabona wa Katonda Ali Waggulu ddala, yasisinkana Yiburayimu ng'adda eka ng'amaze okugoba bakabaka, n'amuwa omukisa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga oyo Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, yasisinkana Ibulayimu bwe yali ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Melikizeddeki oyo yali kabaka w'e Saalemu era kabona wa Katonda Atenkanika. Aburahamu bwe yali ng'ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Melikizeddeki n'amusisinkana, era n'amuwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Merukizeddeeki oyo kabaka w’e Ssaalemi, kabona wa Katonda Ali waggulu ennyo, eyasisinkana Ibulayimu ng'akomawo ng'ava okutta bakabaka, n'amusabira omukisa,