Hebrews 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa obwakabona bwa Leevi bwali bumala okutuusa ku kutuukirira mu bujjuvu, - anti mu bwo Etteeka mwe lyaweerwa abantu, - ate kiki ekyandireesezza kabona omulala ow'omu lubu lwa Melekisedeki atamenyerwa mu lubu lwa Aroni?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw'Abaleevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo, kiki ekyetaaza nate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka gaaweebwa abantu ba Yisirayeli nga geesigamye ku bwakabona bwa Baleevi. Kale singa omulimu gwa bakabona Abaleevi gwali gutuukiridde, tewandyetaagiddwawo kabona mulala okujja, nga wa lubu lwa Melikizeddeki, olutali lwa Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale okutuukirira singa kwaliwo lwa bwakabona obw'Ekileevi (kubanga abantu baaweebwa amateeka mu biro byabwo), kiki ekyetaaza nate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizeddeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni?