Hebrews 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kimanyiddwa bulungi nga Mukama waffe yasibuka mu Yuda, ekika Musa ky'atayogerangako ku bikwata ku bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kitegeerekese nga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo bya bakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kimanyiddwa nti yava mu kika kya Yuda, Musa ky'atayogerangako nti kirivaamu bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kitegeerekese ga Mukama waffe yava mu Yuda; ekika Musa ky'atayogerako bigambo ya bakabona.