Hebrews 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyatangaaza byonna kwe kusitukawo kabona omulala ali mu lubu lwa Melekisedeki,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kitegeerekeka nga wazeewo kabona omulala ali mu kifaananyi kya Merukizeddeeki,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byeyongera okutegeerekeka, bwe wasitukawo kabona omulala ali nga Melikizeddeki,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebyo byeyogera nnyo okutegeerekeka, oba nga ayimuka kabona ow'okubiri ng'ekifaananyi kya Merukizeddeeki bwe kiri,