Hebrews 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyafuuka kabona, si lwa bulombolombo bwa mu Tteeka obwesiba ku ndyo z'abantu, wabula olw'amaanyi ag'obulamu obutalisaanyizibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
afuuse kabona si mu mateeka nga bwe galagira abe nga ava mu lubu lwa buzaale, naye avudde mu maanyi ag'obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ataalondebwa kusinziira ku mateeka n'ebiragiro ebifuga abantu, wabula ku buyinza bw'obulamu obutakoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
atalondebwa ng'amateeka bwe gali agalimu ekiragiro ky'omubiri, wabula ng'amaanyi bwe gali ag'obulamu obutakutuka: