Hebrews 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti Etteeka tewali kye lyamaliriza - naye waaleetebwawo essuubi erisingawo, mwe tuyima okusemberera Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza, essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Amateeka tegaliiko kye gaatuukiriza. Kaakano kyewaava waleetebwawo essuubi erisingawo, erituleetera okusemberera Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga amateeka tagaliiko kye gaatuukiriza), essuubi erisinga obulungi ne liyingizibwa, eritusembezesa eri Katonda.