Hebrews 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ono ye yaliko n'ekirayiro, okuva ew'oyo eyamugamba nti: “Omukama yalayira, era tagenda kwejjusa: ggwe oli kabona emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti, “Mukama yalayira era tagenda kwejjusa: ‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abo baafuulibwanga bakabona awatali kirayiro; naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro ng'ayita mu oyo amwogerako nti, “Mukama yalayira, era talyejjusa, Oli kabona okutuusa emirembe gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yesu yafuulibwa kabona nga waliwo ekirayiro, Katonda bwe yamugamba nti: “Mukama yalayira, era talyejjusa: Oli kabona emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga bo baafuulibwa bakabona awatali kirayiro; naye oyo awamu n'ekirayiro yafuulibwa oyo amwogerako nti Mukama yalayira, era talyejjusa, nti Oli kabona okutuusa emirembe gyonna);