Hebrews 7:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bakabona ab'edda baali bangi, anti ng'olumbe terubaganya kusigalawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona baali bangi kubanga baafanga nga tebayinza kubeerawo bbanga lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona bali baali bangi, kubanga baafanga, ne batasobola kusigalawo bbanga lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bangi baafuulibwa bakabona, kubanga okufa kwabalobera okubeereranga: