Hebrews 7:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twali twetaaga okuba ne kabona ow'engeri eyo, omutuukirivu, ataliiko musango, ataliiko bbala, ayawuliddwa ku boonoonyi, asukkulumye okukira eggulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Ssaabakabona ng'oyo omutuukirivu, ataliiko kisobyo, ataliiko bbala, atabalirwa mu babi, era eyagulumizibwa okukira eggulu, ye yatusaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kabona asinga obukulu afaanana bw'atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okukira eggulu;