Hebrews 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ateetaaga kukola nga bakabona bali bwe baakolanga, buli lunaku okuweereza ebitambiro, ekisooka olw'ebibi bye, ate ne ky'aweereza ku lwa bantu. Ye ekyo yakikola omulundi gumu n'amala bwe yeeweereza yennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
atawalirizibwa, nga bakabona abasinga obukulu bali, okuwangayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibi bye yennyini, oluvannyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukolera ddala omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tali nga bassaabakabona abalala. Teyeetaaga kuwaayo buli lunaku bitambiro: okusooka olw'ebibi bye, n'oluvannyuma olw'ebibi by'abalala. Yawaayo ekitambiro omulundi gumu, bwe yeewaayo ye yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)