Hebrews 7:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka be lifuula bakabona abakulu baba bantu bayabayaba; naye ekigambo ky'ekirayiro ekyaddirira Etteeka kyalonda Omwana eyafuulibwa atuukiridde emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amateeka gaalondanga abantu okuba bakabona abasinga obukulu, n'obunafu bwabwe, naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka be galonda okuba bassaabakabona, bantu buntu abalina obunafu. Naye ekigambo ky'ekirayiro kya Katonda ekyaddirira Amateeka, kyalonda Mwana omutuukirivu emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amateeka galonda abantu okuba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kyalonda Omwana, eyatuukirizibwa okutuusa emirembe gyonna.