Hebrews 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Talina kitaawe, talina nnyina, talina lulyo, talina lunaku lwe yasookerako yadde enkomerero y'obulamu bwe. Ali ng'Omwana wa Katonda; asigala kabona ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda, abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebimwogerako tebyogera ku kitaawe wadde nnyina, wadde bajjajjaabe. Era tebyogera na ku lunaku lwe yazaalirwako, wadde lwe yafiirako. Afaanaanyirizibwa n'Omwana wa Katonda, aba Kabona ow'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
atalina kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyizibwa Omwana wa Katonda), abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna,