Hebrews 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'abaana ba Leevi bwe baafunanga obwakabona baalagirwanga okuggya ekyekkumi ku bantu ng'Etteeka bwe ligamba. Kwe kugamba nti bakiggya nno ku baganda baabwe, sso nga nabo bazzukulu ba Yiburayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubaddenga bo n'abo baava mu Ibulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, Amateeka gabalagira okusolooza ku bantu ekitundu ekimu eky'ekkumi, newaakubadde ng'abantu abo baganda baabwe, kwe kugamba nabo bazzukulu ba Aburahamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweebwa obwakabona amateeka gabalagira okusoloozanga ebitundu eby'ekkumi mu bantu, be baganda baabwe, newakubadde ng'abo bava mu ntumbwe za Ibulayimu: